ترجمة معاني سورة الكوثر باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية. ﰡ ﮆﮇﮈ ﰀ 1. Mazima ffe twakuwa e birungi e bingi, (mu ebyo mwe muli n'oluzzi Kauthara olw'omu jjana). ﮊﮋﮌ ﰁ 2. N'olwekyo wenywereze ku kusaala ku lwa Katondawo, era osale n’ebisolo, nga osaddaaka ku lwa Katondawo. ﮎﮏﮐﮑ ﰂ 3. Mazima oyo akuwalagganya, (ng'akuvuma era n'okukujeeja) ye wenkuggu.