ترجمة معاني سورة الماعون باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية. ﰡ ﭦﭧﭨﭩ ﰀ 1. Olabye oyo alimbisa olunaku lw'enkomerero. ﭫﭬﭭﭮ ﰁ 2. Oyo nno y’oyo awalagganya ba mulekwa. ﭰﭱﭲﭳﭴ ﰂ 3. Era nga takubiriza kuliisa banaku. ﭶﭷ ﰃ 4. Okubonaabona kuli ku abo abasaala, ﭹﭺﭻﭼﭽ ﰄ 5. Nga balagajjalira e sswala zaabwe. ﭿﮀﮁ ﰅ 6. Abo abakola bandabe. ﮃﮄ ﰆ 7. Era abamma bannaabwe ebintu ebitasaana kumma.